Ezekiel 47:16-18

16 aBerosa, Sibulayimu ekiri ku nsalo wakati w’e Ddamasiko n’e Kamasi, okutuukira ddala e Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y’e Kawulaani. 17 bEra ensalo eriva ku nnyanja okutuuka e Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ey’Obukiikakkono, okuliraana Kamasi mu Bukiikakkono. Era eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikakkono.
18Ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo eriva e Kazalenooni ekiri wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko ku lubalama lwa Yoludaani wakati wa Gireyaadi n’ensi ya Isirayiri era n’okutuuka ku nnyanja ey’Ebuvanjuba. Eyo y’eriba ensalo ey’Ebuvanjuba.
Copyright information for LugEEEE